Ennyiriri za Bayibuli ku Ebirabo Bingi, Omwoyo Gumu

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Ebirabo Bingi, Omwoyo Gumu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

Yongerako ennyiriri zonna 11 Tondawo akawunti ey’obwereere okuzikwata ku mutwe.
01 1 Abakkolinso 12:4 Olunyiriri olukulu

Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu.

02 1 Abakkolinso 12:5-6

Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu. Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu.

03 1 Abakkolinso 12:11

Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala.

04 Abaefeso 4:4

Omubiri nga bwe guli ogumu, n’Omwoyo omu, n’essuubi liri limu ery’okuyitibwa kwammwe.

05 Abaruumi 12:5

Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo.

06 1 Abakkolinso 12:7

Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna.

07 Abaefeso 4:7

Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli.

08 1 Abakkolinso 12:14

Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi.

09 Abaruumi 12:6

Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri,

10 Abaefeso 4:11

Era y’omu oyo eyawa abamu okuba abatume, n’abalala okuba bannabbi, n’abalala okuba ababuulizi b’enjiri, n’abalala okuba abasumba, n’abalala okuba abayigiriza.

11 1 Abakkolinso 12:18

Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala.

Emitwe egikwatagana