Ennyiriri za Bayibuli ku Okufukibwako Amafuta
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Okufukibwako Amafuta okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.
Kyokka mmwe mwafukibwako amafuta okuva eri Omutukuvu, era mumanyi byonna.
Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda,
Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.
Onsosootolera emmere abalabe bange nga balaba; onsiize amafuta ku mutwe, ekikompe kyange kiyiwa.
“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe, n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe bateebwe bave mu makomera.
Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.