Ennyiriri za Bayibuli ku Mwegombe Ebirabo n'Omwoyo Gwonna
Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Mwegombe Ebirabo n'Omwoyo Gwonna okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo eby’Omwoyo, na ddala ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi.
Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.
Bwe mutyo nga bwe mwegomba okufuna ebirabo eby’Omwoyo, mufubenga nnyo mulyoke musobole okuzimba Ekkanisa ya Kristo.
Kale baganda bange muyaayaanirenga okwogera eby’obunnabbi, kyokka okwogera mu nnimi temukuziyiza.
mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama,
Naye oyo ategeeza abantu eby’obunnabbi ayogera ebibazimba, ebibagumya era n’okubazzaamu amaanyi.
Nandyagadde mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala nandyagadde mwenna mwogere eby’obunnabbi, kubanga ayogera eby’obunnabbi akira oyo ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, Ekkanisa eryoke egasibwe.
Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu ntegeka entuufu.
Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba eky’okuyigiriza, oba ekyo Katonda ky’amubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olw’okuzimba Ekkanisa ya Katonda.
Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.
Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange.