Ennyiriri za Bayibuli ku Okwefuga

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Okwefuga okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaggalatiya 5:23

obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.

02 Engero 25:28

Omuntu ateefuga ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.

03 1 Abakkolinso 9:25

Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka.

04 Tito 2:12

era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano;

05 2 Peetero 1:6

ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda,

06 Engero 16:32

Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi, n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.

07 2 Timoseewo 1:7

Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.

08 1 Abakkolinso 9:27

Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

09 Yakobo 1:19

Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga.

10 Abaggalatiya 5:24

N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo.

11 1 Peetero 5:8

Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya.

12 Engero 29:11

Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna, naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.

13 1 Basessaloniika 5:6

Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga.

14 Abaruumi 13:14

naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli.

Emitwe egikwatagana