Ennyiriri za Bayibuli ku Okuweereza n'Ebirabo
Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Okuweereza n'Ebirabo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Buli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba.
Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri, oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza;
Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna.
Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne.
Ayogera, ayogerenga ng’atumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.
mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama,