Ennyiriri za Bayibuli ku Temuzikiza Omwoyo
Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Temuzikiza Omwoyo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu,
Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa.
era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga.
“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli.
Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo.
Naye baajeema ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu, kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe era ye kennyini n’abalwanyisa.
Noolwekyo nga Mwoyo Mutukuvu bw’agamba nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, temukakanyaza mitima gyammwe, nga bali bwe baajeema, ku lunaku lwe bagezesaako Katonda mu ddungu.
mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama,
Tongoba w’oli, era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo?
Noolwekyo mbategeereza ddala nti omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa.
Naye Peetero n’agamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, n’okulimba n’olimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gw’ennimiro?