Ennyiriri za Bayibuli ku Amaanyi Agava Waggulu

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Amaanyi Agava Waggulu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Ebikolwa by’Abatume 1:8

Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.”

02 Lukka 24:49

Laba mbaweereza ekisuubizo kya Kitange. Mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava mu ggulu.”

03 Ebikolwa by’Abatume 2:4

Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.

04 Mikka 3:8

Naye nze, nzijjudde amaanyi n’Omwoyo wa Mukama, okwekaliriza ensonga n’obuvumu, njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola, olw’ekibi kya Isirayiri.

05 Zekkaliya 4:6

Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

06 Ebikolwa by’Abatume 4:31

Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.

07 Ebikolwa by’Abatume 10:38

Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.

08 Abaruumi 15:13

Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

09 Isaaya 40:31

Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.

10 Abaefeso 3:20

Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe,

11 2 Timoseewo 1:7

Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.

12 Ebikolwa by’Abatume 2:38

Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.

13 Yoweeri 2:28

“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso; abakadde baliroota ebirooto, n’abavubuka bammwe balyolesebwa.

Emitwe egikwatagana