Ennyiriri za Bayibuli ku Okukulemberwa Omwoyo

Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Okukulemberwa Omwoyo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaruumi 8:14

kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda.

02 Abaruumi 8:16

Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda.

03 Abaggalatiya 5:18

Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.

04 Yokaana 16:13

Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo.

05 Zabbuli 143:10

Njigiriza okukola by’oyagala, kubanga ggwe Katonda wange! Omwoyo wo omulungi ankulembere, antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.

06 Abaggalatiya 5:25

Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo.

07 Isaaya 30:21

Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.”

08 Abaruumi 8:4

Ekyo kyabaawo, eby’obutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo.

09 Zabbuli 25:4-5

Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama, ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga. Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna; kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.

10 Abaruumi 8:5-6

Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo. Okulowooleza mu by’omubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu n’emirembe.

11 Ebikolwa by’Abatume 8:29

Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”

12 Ebikolwa by’Abatume 13:2

Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.”

13 Ebikolwa by’Abatume 16:6-7

Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi y’e Fulugiya n’e Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo. Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu n’atabakkiriza.

14 Engero 3:5-6

Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka. Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.

15 Zabbuli 32:8

Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.

Emitwe egikwatagana