Ennyiriri za Bayibuli ku Omwoyo Atuyamba mu Bunafu Bwaffe

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Omwoyo Atuyamba mu Bunafu Bwaffe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaruumi 8:26

N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka.

02 Abaruumi 8:27

Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo ky’alowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ng’okusiima kwa Katonda bwe kuli.

03 Yokaana 14:16

nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe,

04 2 Abakkolinso 12:9

Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe.

05 Abafiripi 4:13

Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

06 Isaaya 40:31

Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.

07 Zekkaliya 4:6

Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

08 Zabbuli 73:26

Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa; naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange, era ye wange ennaku zonna.

09 Abaefeso 3:16

Nsaba Katonda oyo akola eby’ekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe ow’omunda, olw’Omwoyo we,

10 2 Abakkolinso 4:16

Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo.

11 Isaaya 41:10

Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”

12 Zabbuli 46:1

Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe; omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.

13 Yokaana 14:26

Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.

14 Abaruumi 15:13

Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

Emitwe egikwatagana