Ennyiriri za Bayibuli ku Temukoowa
Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Temukoowa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi.
Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.
Naye mmwe temukoowanga kukola bulungi abooluganda abaagalwa.
Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima.
Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo.
Awa amaanyi abazirika, n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”
Lindirira Mukama. Ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Weewaawo, lindirira Mukama.
“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.
Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa,
Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.
Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ng’okubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, n’embala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi.