Ennyiriri za Bayibuli ku Obunywevu

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Obunywevu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 1 Abakkolinso 15:58

Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.

02 Yakobo 1:3-4

nga mumanyi ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. Omulimu gw’okugumiikiriza bwe gutuukirira, ne mulyoka mufuuka abatuukiridde era abakulidde ddala mu mwoyo, nga temulina kibabulako.

03 Abakkolosaayi 1:23

Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

04 Zabbuli 16:8

Nkulembeza Mukama buli kiseera, era ali ku mukono gwange ogwa ddyo, siinyeenyezebwenga.

05 1 Peetero 5:9

Mumwaŋŋange ng’abalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti ebibonoobono ebiri ng’ebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.

06 1 Abakkolinso 16:13

Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi.

07 Yakobo 1:12

Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.

08 Abaebbulaniya 6:19

Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi.

09 2 Peetero 3:17

Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde.

10 Zabbuli 112:7

Amawulire amabi tegaamutiisenga, kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.

11 1 Basessaloniika 3:8

Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu.

Emitwe egikwatagana