Ennyiriri za Bayibuli ku Obwesigwa mu Bintu Ebitono

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Obwesigwa mu Bintu Ebitono okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Lukka 16:10

Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; n’oyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa.

02 Matayo 25:21

“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’

03 Zekkaliya 4:10

“Ani anyooma olunaku olw’ebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”

04 Abakkolosaayi 3:23

Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu,

05 1 Abakkolinso 4:2

Ate era omuwanika kimugwanira okuba omuntu omwesigwa.

06 Lukka 19:17

“Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’

07 Matayo 25:23

“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’

08 Engero 28:20

Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi, naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.

09 1 Timoseewo 3:11

N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu.

10 Okukungubaga 3:23

Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.

11 Abaggalatiya 6:9

Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi.

12 Lukka 16:11

Kale obanga temwesigibwa mu bugagga obutali butuukirivu, ani agenda okubeesiga mu bugagga obw’amazima?

13 Matayo 13:31-32

N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro. Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”

14 Oluyimba 2:15

Tukwatire ebibe, obube obutono, obwonoona ennimiro ez’emizabbibu, kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza.

Emitwe egikwatagana