Ennyiriri za Bayibuli ku Okugumiikiriza n'Okumaliriza Obulungi
Empaka ez'okukkiriza tudduka na kugumiikiriza, nga tutunuulira Yesu okutuuka ku nkomerero. Okugezesebwa kuleeta okugumiikiriza, era abo abanywerera baliweebwa engule ey'obulamu. Ennyiriri zino ziwa amaanyi okweyongera mu maaso n'okumaliriza obulungi.
Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.
Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa,
Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.
nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.
Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda.
Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; n’oyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa.
Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi.
Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange.
Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu.
Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa,
Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.