Ennyiriri za Bayibuli ku Okugumiikiriza

Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Okugumiikiriza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaebbulaniya 12:1

Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa,

02 Yakobo 1:12

Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.

03 2 Timoseewo 2:3

Naawe bonaabonanga ng’omuserikale omulungi owa Kristo Yesu.

04 Abaruumi 5:3-4

Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ng’okubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, n’embala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi.

05 Abaebbulaniya 10:36

Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.

06 2 Timoseewo 4:5

Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo.

07 Yakobo 5:11

Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ng’entegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.

08 Abakkolosaayi 1:11

Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke,

09 1 Peetero 2:20

Kale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olw’okukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olw’okukola obulungi.

10 Matayo 24:13

Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa.

11 2 Abakkolinso 4:17

Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe.

12 Abaruumi 8:25

Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n’okugumiikiriza.

Emitwe egikwatagana