Ennyiriri za Bayibuli ku Okuyimirira Ennywevu

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Okuyimirira Ennywevu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaefeso 6:13

Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu.

02 1 Abakkolinso 16:13

Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi.

03 Abaefeso 6:11

Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani.

04 Abafiripi 1:27

Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu.

05 2 Basessaloniika 2:15

Noolwekyo abooluganda, munywererenga ku ebyo bye twabayigiriza mu bbaluwa zaffe oba mu bigambo byaffe.

06 1 Peetero 5:9

Mumwaŋŋange ng’abalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti ebibonoobono ebiri ng’ebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.

07 Abaggalatiya 5:1

Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.

08 Abakkolosaayi 1:23

Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

09 Yakobo 4:7

Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.

10 1 Abakkolinso 15:58

Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.

Emitwe egikwatagana