Ennyiriri za Bayibuli ku Obugumiikiriza

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Obugumiikiriza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaruumi 12:12

nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.

02 Yakobo 5:7-8

Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi.

03 Abaggalatiya 5:22

Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa,

04 Abakkolosaayi 1:11

Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke,

05 Okukungubaga 3:25-26

Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi, eri oyo amunoonya. Kirungi omuntu okulindirira obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.

06 Abaefeso 4:2

Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala.

07 Abaruumi 8:25

Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n’okugumiikiriza.

08 1 Basessaloniika 5:14

Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna.

09 2 Timoseewo 2:24

Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, n’okuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza,

10 Abaebbulaniya 6:12

Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng’abo abakkiriza era abagumiikiriza ne bafuna ekyasuubizibwa.

Emitwe egikwatagana