Ennyiriri za Bayibuli ku Ebigambo Ebirungi

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Ebigambo Ebirungi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abakkolosaayi 4:6

Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.

02 Abaefeso 4:29

Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira.

03 Engero 15:4

Olulimi oluzimba muti gwa bulamu, naye olulimi olulimba lubetenta omutima.

04 Zabbuli 19:14

Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange, bisiimibwe mu maaso go, Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.

05 Engero 16:24

Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki, biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.

06 Engero 10:11

Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu, naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.

07 Engero 10:20-21

Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo, naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono. Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi, naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.

08 Engero 25:11

Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde, kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.

09 Matayo 12:34-35

Mmwe abaana b’embalasaasa, mmwe abalina ebibi muyinza mutya okwogera ebirungi? Akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima. Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu tterekero lye eddungi, era n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu tterekero lye ebbi.

10 Engero 16:23

Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi, era akamwa ke kayigiriza abalala.

11 Abaefeso 5:4

Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda.

12 Engero 15:23

Okuddamu obulungi kisanyusa, era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.

13 Yakobo 3:10

Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo!

14 Engero 12:14

Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke, n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi.

Emitwe egikwatagana