Ennyiriri za Bayibuli ku Olulimi

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Olulimi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yakobo 3:5

N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya.

02 Engero 18:21

Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.

03 Yakobo 3:6

Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.

04 Yakobo 1:26

Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa.

05 Engero 21:23

Afuga akamwa ke n’olulimi lwe, yeewoonya emitawaana.

06 Engero 15:4

Olulimi oluzimba muti gwa bulamu, naye olulimi olulimba lubetenta omutima.

07 Abaefeso 4:29

Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira.

Emitwe egikwatagana