Ennyiriri za Bayibuli ku Okuwaayiriza

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Okuwaayiriza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaefeso 4:31

Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe.

02 Zabbuli 101:5

Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama, nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala sijja kubigumiikirizanga.

03 Tito 3:2

Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.

04 Yakobo 4:11

Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango.

05 Engero 10:18

Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba, era omuntu akonjera, musirusiru.

06 Zabbuli 15:1-3

Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo? Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu? Oyo ataliiko kya kunenyezebwa, akola eby’obutuukirivu, era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe. Olulimi lwe talwogeza bya bulimba, era mikwano gye tagiyisa bubi, so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.

07 1 Peetero 2:1

Kale mukomye buli ngeri yonna ey’ettima, n’obulimba bwonna, n’obukuusa, n’obuggya, n’okwogera ekibi kwonna.

08 Abakkolosaayi 3:8

Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi.

09 Engero 16:28

Omuntu omubambaavu asiikuula entalo, n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago.

10 Okuva 23:1

“Tosaasaanyanga ŋŋambo. Teweegattanga na muntu mubi, ng’owa obujulirwa obw’obulimba bulyoke bumuyambe.

11 Matayo 15:19

Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola.

Emitwe egikwatagana