Ennyiriri za Bayibuli ku Okwemulugunya

Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Okwemulugunya okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abafiripi 2:14

Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka,

02 1 Abakkolinso 10:10

Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza.

03 1 Peetero 4:9

Musembezeganenga awatali kwemulugunya.

04 Okubala 11:1

Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe.

05 Yakobo 5:9

Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.

06 Okuva 16:8

Musa n’ayongera okubagamba nti, “Mujja kwongera okutegeera Mukama, olweggulo nga buwungeera bw’anaabawa ennyama ne mulya, ate enkya n’abawa emmere ebamala: kubanga Mukama awulidde nga mumwemulugunyiza. Naffe ffe b’ani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”

07 Okubala 14:27

“Ekibiina kino ekibi kirituusa ddi nga kinneemulugunyiza? Mpulidde okutolotooma kw’abaana ba Isirayiri nga banneemulugunyiza.

08 Okukungubaga 3:39

Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya, bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?

09 Yuda 1:16

Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo eby’okweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ng’omanya nti balina kye bamwagalako.

10 Abafiripi 2:14-15

Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi,

11 Zabbuli 106:25

Beemulugunyiriza mu weema zaabwe, ne batagondera ddoboozi lya Mukama.

12 Yokaana 6:43

Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya.

13 Okubala 14:2

Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno!

14 Okuva 14:11

Ne bagamba Musa nti, “Mu Misiri entaana tezaaliyo, kyewava otuleeta tufiire wano mu ddungu? Lwaki watuggya mu Misiri n’ojja otuyisa bw’oti?

15 1 Abakkolinso 10:11

Ebyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero.

Emitwe egikwatagana