Ennyiriri za Bayibuli ku Okwesibira Okwogera

Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Okwesibira Okwogera okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yakobo 1:19

Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga.

02 Engero 10:19

Mu bigambo ebingi temubula kwonoona, naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.

03 Engero 17:28

Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi, era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.

04 Omubuulizi 5:2

Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo, wadde omutima gwo ogwanguyiriza, okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda. Katonda ali mu ggulu ng’ate ggwe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono.

05 Engero 29:20

Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru alina essuubi okumusinga.

06 Engero 18:13

Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza, buba busirusiru bwe era buswavu.

07 Engero 15:28

Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula, naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.

08 Engero 13:3

Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe, naye oyo amala googera, alizikirira.

Emitwe egikwatagana