Ennyiriri za Bayibuli ku Okwogera Amazima

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Okwogera Amazima okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaefeso 4:15

Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa.

02 Zekkaliya 8:16

Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe;

03 Abaefeso 4:25

Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.

04 Engero 12:22

Mukama akyawa emimwa egirimba, naye asanyukira ab’amazima.

05 Zabbuli 15:2

Oyo ataliiko kya kunenyezebwa, akola eby’obutuukirivu, era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.

06 Engero 12:19

Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna, naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.

07 Yokaana 8:32

Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”

08 Abakkolosaayi 3:9

Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye,

09 Zabbuli 34:13

Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana, n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.

10 1 Peetero 3:10

Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ayagala okufuna obulamu n’okubeera mu ddembe, aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi, n’emimwa gye okwogera ebyobukuusa.

11 Engero 8:7

Akamwa kange koogera bituufu byereere; kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.

Emitwe egikwatagana