Ennyiriri za Bayibuli ku Wansi w'Ebiwaawaatiro bye
Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Wansi w'Ebiwaawaatiro bye okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Alikubikka n’ebyoya bye, era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga; obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo; aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna. Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange; ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire, kubanga neesiga ggwe. Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.
“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana.
Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika. Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa baddukira mu biwaawaatiro byo.
Olw’okuba ng’oli mubeezi wange, nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
Mukama Katonda wa Isirayiri gwe weeyuna wansi w’ebiwaawaatiro bye, akusasule olw’ebyo by’okoze. Mukama Katonda wa Isirayiri, oyo gwe weewagamye wansi w’ebiwawaatiro bye, akuwe empeera ennene ddala.”
Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna; ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo, n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo, era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula, n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,
“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi, atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana!
Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo.
Kubanga Mukama aliragira bamalayika be bakukuume mu makubo go gonna.
Mukama ye mukuumi wo; Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;