Ennyiriri za Bayibuli ku Katonda Engabo Yaffe
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Katonda Engabo Yaffe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Mukama ge maanyi gange, era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. Bwe ntyo ne nyambibwa. Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti, “Totya Ibulaamu, Nze ngabo yo era empeera yo ennene ennyo.”
Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
Katonda byonna by’akola bigolokofu; Mukama ky’asuubiza akituukiriza; era bwe buddukiro bw’abo bonna abamwekwekamu.
Buli kigambo kya Katonda kya mazima, era aba ngabo eri abo abamwesiga.
Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
Tulindirira Mukama nga tulina essuubi, kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.
Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange; essuubi lyange liri mu kigambo kyo.