Ennyiriri za Bayibuli ku Ekitala ky'Omwoyo

Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Ekitala ky'Omwoyo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaefeso 6:17

Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo,

02 Abaebbulaniya 4:12

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima.

03 Matayo 4:4

Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

04 Yeremiya 23:29

“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.

05 Zabbuli 119:11

Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.

06 Okubikkulirwa 1:16

Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ng’alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri mu kamwa ke; n’ekyenyi kye nga kiri ng’enjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.

Emitwe egikwatagana