Ennyiriri za Bayibuli ku Okununulibwa
Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Okununulibwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange, ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka; ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga.
Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza, n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange, n’anziggya mu kinnya eky’entiisa, n’annyinyulula mu bitosi, n’anteeka ku lwazi olugumu kwe nyimiridde.
Alokola era awonya: akola obubonero n’ebyamagero mu ggulu ne ku nsi. Yalokodde Danyeri mu mannyo g’empologoma.”
Nanoonya Mukama, n’annyanukula; n’ammalamu okutya kwonna.
Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi; n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.
Bw’obanga mu buzibu, nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”
Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa,