Ennyiriri za Bayibuli ku Okukuumibwa

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Okukuumibwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 91:1-2

Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo; aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna. Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange; ggwe Katonda wange gwe nneesiga.

02 Zabbuli 121:7-8

Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo. Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

03 Isaaya 41:10

Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”

04 2 Basessaloniika 3:3

Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani.

05 Zabbuli 32:7

Oli kifo kyange mwe nneekweka, ononkuumanga ne situukwako kabi era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.

06 Zabbuli 121:1-3

Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa? Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu n’ensi. Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga.

07 Engero 18:10

Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi, omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.

Emitwe egikwatagana