Ennyiriri za Bayibuli ku Tewali Kyokulwanyisa Kirikulemererawo

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Tewali Kyokulwanyisa Kirikulemererawo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Isaaya 54:17

Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola, era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe. Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,” bw’ayogera Mukama.

02 Isaaya 54:14

Olinywezebwa mu butuukirivu era toojoogebwenga, kubanga tolitya, onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.

03 Abaruumi 8:31

Kale tunaagamba ki ku bintu bino? Katonda bw’abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa?

04 Zabbuli 27:1-2

Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange; ani gwe nnaatyanga? Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; ani asobola okuntiisa? Abalabe bange n’abantu ababi bonna bwe banannumba nga baagala okunzita, baneesittala ne bagwa.

05 Isaaya 41:11

“Laba, abo bonna abakukambuwalidde balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku. Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa ne baggwaawo.

06 Isaaya 41:10

Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”

07 Zabbuli 91:7

Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo, n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo, naye olumbe terulikutuukako.

08 Ekyamateeka Olwokubiri 28:7

Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa.

09 Okuva 14:14

Mukama ajja kubalwanirira. Mmwe musirike busirisi.”

10 2 Ebyomumirembe 20:17

Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’anaabawa mmwe Yuda ne Yerusaalemi. Temutya wadde okuggwaamu omwoyo; enkya mugende mubasisinkane, Mukama anaabeera nammwe.’ ”

Emitwe egikwatagana