Ennyiriri za Bayibuli ku Ekitiibwa ky'Erinnya lye
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Ekitiibwa ky'Erinnya lye okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye; musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu.
Katonda kyeyava amugulumiza, n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna; buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi, era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa, erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
Era ku lunaku olwo mulyogera nti, “Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe! Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye. Amiina era Amiina!