Ennyiriri za Bayibuli ku Mukama Omuwonya waffe

Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Mukama Omuwonya waffe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Okuva 15:26

ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

02 Zabbuli 103:2-3

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, era teweerabiranga birungi bye byonna. Asonyiwa ebibi byo byonna, n’awonya n’endwadde zo zonna.

03 Isaaya 53:5

Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe. Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya.

04 Yeremiya 17:14

Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona, ndokola nange nnaalokoka, kubanga ggwe gwe ntendereza.

05 Zabbuli 147:3

Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese, era ajjanjaba ebiwundu byabwe.

06 Yeremiya 30:17

Naye ndikuzzaawo owone, ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama, ‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa, Sayuuni atalina n’omu amufaako.’

07 Zabbuli 30:2

Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, n’omponya.

08 Malaki 4:2

Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo.

09 Matayo 11:28

“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.

10 1 Peetero 2:24

Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.

11 Zabbuli 41:3

Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; n’amuwonya mu bulumi.

12 Koseya 6:1

“Mujje, tudde eri Mukama. Atutaaguddetaagudde, naye alituwonya; atuleeseeko ebiwundu, naye ebiwundu alibinyiga.

13 Lukka 4:18

“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe, n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,

14 Zabbuli 107:20

Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe; n’abalokola mu kuzikirira.

15 Yakobo 5:14-15

Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa.

Emitwe egikwatagana