Ennyiriri za Bayibuli ku NZE NDI

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku NZE NDI okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Okuva 3:14

Katonda n’agamba Musa nti, “ Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘ Ndi y’antumye gye muli.’ ”

02 Yokaana 8:58

Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.”

03 Okuva 3:15

Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘ Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’ “Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera, era lye linnya lye nnajjuukirirwangako mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.

04 Okubikkulirwa 1:8

“Nze Alufa ne Omega,” bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”

05 Yokaana 8:12

Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”

06 Yokaana 8:24

Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”

07 Yokaana 6:35

Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.

08 Yokaana 10:9

Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro.

09 Yokaana 11:25

Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu,

10 Yokaana 14:6

Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze.

11 Yokaana 15:1

“Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi.

12 Okubikkulirwa 1:17

Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero,

13 Okubikkulirwa 22:13

Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.

Emitwe egikwatagana