Ennyiriri za Bayibuli ku Amannya n'Engeri za Katonda
Katonda yeeyolesa ng'ayita mu mannya ge n'engeri ze — Mukama agaba, Nze nze nze, Olwazi, Oyo atakyukakyuka. Buli linnya kifo eky'okuyimirirako era amazima ag'okwesiga. Ennyiriri zino zikuyamba okumanya Katonda nga bwe yeeyolese.
Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya Mukama alitugabirira, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa Mukama anaagabiriranga.
Katonda n’agamba Musa nti, “ Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘ Ndi y’antumye gye muli.’ ”
Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono.
Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange, ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka; ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bw’ali era bw’aliba emirembe n’emirembe.
“Nze Alufa ne Omega,” bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”
Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo, era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna. Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba, n’agamba nti, ‘Bazikirize!’
Gidyoni n’azimbira Mukama Katonda ekyoto mu kifo ekyo; n’akituuma erinnya Yakuwasalumu ( Mukama gy’emirembe); n’okutuusa kaakano kikyaliyo mu Ofula eky’ab’omu ssiga lya Abiezeri.
ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”
Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.”
Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina.