Ennyiriri za Bayibuli ku Katonda Atakyuka

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Katonda Atakyuka okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaebbulaniya 13:8

Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bw’ali era bw’aliba emirembe n’emirembe.

02 Malaki 3:6

“Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza.

03 Yakobo 1:17

Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.

04 Okubala 23:19

Katonda si muntu, nti ayinza okulimba, oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye. Ayogera n’atakola? Asuubiza n’atatuukiriza?

05 Zabbuli 102:27

Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera n’emyaka gyo tegirikoma.

06 Isaaya 40:8

Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”

07 Zabbuli 33:11

Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna; n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.

Emitwe egikwatagana