Ennyiriri za Bayibuli ku Yehova Yire (Mukama Agaba)
Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Yehova Yire (Mukama Agaba) okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya Mukama alitugabirira, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa Mukama anaagabiriranga.
Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.
Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.
Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
Ibulayimu n’amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa.” Kale ne bagenda bombi.
Awo Ibulayimu n’ayimusa amaaso, n’alaba, era laba, emabega we endiga ennume ng’eri mu kisaka ng’amayembe gaayo mwe galaalidde. Ibulayimu n’agenda n’addira endiga eyo n’agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ky’omwana we.
Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi,
Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be, kubanga abamutya tebaajulenga. Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi; naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
Naye munoonye obwakabaka bwe, n’ebintu ebyo mulibyongerwako.
Oyo ataasaasira Mwana we ye, naye n’amuwaayo ku lwaffe ffenna, talituwa buwi bintu byonna awamu naye?
Agabira abamutya emmere; era ajjukira endagaano ye buli kiseera.