Ennyiriri za Bayibuli ku Ayinzabyonna
Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Ayinzabyonna okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
“Nze Alufa ne Omega,” bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”
Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.
Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti, “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna, Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”
Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo; aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
“Mmanyi ng’oyinza okukola ebintu byonna, era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa.
“Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu n’ensi n’amaanyi go amangi ennyo, n’omukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema.
Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.
Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi w’enkomerero y’ensi. Tazirika so takoowa era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”
Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka, n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti, “Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna. Amakubo go matukuvu era ga mazima, ayi ggwe Kabaka w’amawanga.