Ennyiriri za Bayibuli ku Sumulula Enjegere
Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Sumulula Enjegere okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Kuno kwe kusiiba kwe nalonda; okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu, n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo, n’okuta abo abanyigirizibwa, n’okumenya buli kikoligo?
Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe bateebwe bave mu makomera.
“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe, n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya, n’abalumwa enjala abawa ebyokulya. Mukama asumulula abasibe.
Okuzibula amaaso g’abazibe, okuta abasibe okuva mu makomera n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.
Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu; olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano. “Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;