Ennyiriri za Bayibuli ku Obutaba na Bwesige
Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Obutaba na Bwesige okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo; nga tonnava mu lubuto n’akutukuza. Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”
Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo; emirimu gyo gya kyewuunyo; era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.
Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.
Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe.
Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, nga Mukama ly’essuubi lye. Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi, ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga, nga wadde omusana gujja, tegutya n’amakoola gaagwo tegawotoka, so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya era teguliremwa kubala bibala.
kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.
Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.
Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda, ggwe Yakobo, eyakukola ggwe Isirayiri: “Totya kubanga nkununudde, nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Mukama Katonda ali naawe, ow’amaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira n’okuyimba.”
era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna.
Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi,
Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe.