Ennyiriri za Bayibuli ku Ennaku

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Ennaku okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 34:18

Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

02 Matayo 5:4

Balina omukisa abali mu nnaku, kubanga abo balisanyusibwa.

03 Yokaana 11:35

Yesu n’akaaba amaziga.

04 Okubikkulirwa 21:4

Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

05 1 Basessaloniika 4:13

Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi.

06 Zabbuli 30:5

Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera, naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna. Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka essanyu ne lijja nga bukedde.

07 Isaaya 53:3

Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike. Tetwayagala na kumutunulako, ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo, bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.

08 Zabbuli 31:9

Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi; amaaso gange gakooye olw’ennaku; omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.

09 2 Abakkolinso 1:3-4

Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi.

10 Zabbuli 56:8

Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi; amaziga gange gateeke mu ccupa yo! Wagawandiika.

11 Yokaana 14:1

“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize.

12 Isaaya 61:3

Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu, n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku. Ekyambalo ky’okutendereza mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama, balyoke baweebwe ekitiibwa.

13 Zabbuli 147:3

Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese, era ajjanjaba ebiwundu byabwe.

Emitwe egikwatagana