Ennyiriri za Bayibuli ku Essanyu

Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Essanyu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Nekkemiya 8:10

Nekkemiya n’abagamba nti, “Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe.”

02 Zabbuli 16:11

Olindaga ekkubo ery’obulamu; w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu, era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.

03 Yokaana 15:11

Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire.

04 Abafiripi 4:4

Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga.

05 Abaggalatiya 5:22

Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa,

06 Zabbuli 30:5

Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera, naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna. Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka essanyu ne lijja nga bukedde.

07 Abaruumi 15:13

Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

08 Yakobo 1:2-3

Baganda bange, mulowoozenga byonna okuba essanyu, bwe mukemebwanga mu ngeri ezitali zimu nga mumanyi ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza.

09 Zabbuli 126:5

Abo abasiga nga bakaaba amaziga, baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.

10 1 Peetero 1:8

Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza,

11 Isaaya 12:3

Munaasenanga n’essanyu amazzi okuva mu nzizi ez’obulokozi.

12 Zabbuli 32:11

Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu, era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.

13 Kaabakuuku 3:18

kyokka ndijaguliza Mukama, ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.

14 Abaruumi 14:17

Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu.

15 1 Basessaloniika 5:16

Musanyukenga ennaku zonna.

Emitwe egikwatagana