Ennyiriri za Bayibuli ku Okweraliikirira
Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Okweraliikirira okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.
Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.
“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo.
Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama, ajja kukuwanirira; kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.
Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi, okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.
Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika, naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.
Kubanga nze Mukama Katonda wo akukwata ku mukono ogwa ddyo, nze nkugamba nti, Totya nze nzija kukuyamba.
Kale Mukama nannyini mirembe abawenga emirembe mu byonna. Mukama abeerenga nammwe mwenna.
Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe; omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. Kubanga ekikoligo kyange kyangu, n’omugugu gwange teguzitowa.”