Ennyiriri za Bayibuli ku Kuuma Akamwa ko
Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Kuuma Akamwa ko okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Afuga akamwa ke n’olulimi lwe, yeewoonya emitawaana.
Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange, era bwe njogera onkomeko.
Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe, naye oyo amala googera, alizikirira.
Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa.
Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola, n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu. Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
Mu bigambo ebingi temubula kwonoona, naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.
Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi, era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.
Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo, wadde omutima gwo ogwanguyiriza, okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda. Katonda ali mu ggulu ng’ate ggwe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
Era mbategeeza nti buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olw’okusalirako emisango.
Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi, naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.
Weewalire ddala eby’obubambavu era n’okwogera ebya swakaba.
Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga.
Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo?
Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru alina essuubi okumusinga.