Ennyiriri za Bayibuli ku Okumasamasa kw'Ekitiibwa kya Katonda

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Okumasamasa kw'Ekitiibwa kya Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaebbulaniya 1:3

Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu.

02 Yokaana 1:14

Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

03 2 Abakkolinso 4:6

Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.

04 Yokaana 8:12

Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”

05 Abakkolosaayi 1:15

Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo.

06 Yokaana 1:9

Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu.

07 2 Abakkolinso 4:4

Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda.

08 Matayo 17:2

N’afuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba n’ebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana.

09 Yokaana 17:5

Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ng’ensi tennabeerawo.”

10 Okubikkulirwa 21:23

Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo.

11 Abaebbulaniya 1:2

naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu.

12 Zabbuli 27:1

Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange; ani gwe nnaatyanga? Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; ani asobola okuntiisa?

13 Yokaana 1:4-5

Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.

14 Isaaya 60:19

Enjuba si yeenekumulisizanga emisana, oba omwezi okukumulisizanga ekiro. Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe, era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.

Emitwe egikwatagana