Ennyiriri za Bayibuli ku Omwana wa Katonda
Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Omwana wa Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.
Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
Simooni Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”
eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olw’okuzuukira kw’abafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe.
Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.” Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.
Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”
“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.
Entandikwa y’Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.
Malayika n’amuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, n’amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, n’omwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda.
Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu.
kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.
ate Nze, Kitange gwe yatukuza n’antuma mu nsi, lwaki mugamba nti avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda?