Ennyiriri za Bayibuli ku Ekifaananyi kya Katonda

Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Ekifaananyi kya Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abakkolosaayi 1:15

Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo.

02 Abaebbulaniya 1:3

Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu.

03 2 Abakkolinso 4:4

Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda.

04 Yokaana 14:9

Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’

05 Abafiripi 2:6

ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,

06 2 Abakkolinso 4:6

Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.

07 Yokaana 12:45

N’oyo alaba Nze aba alabye oli eyantuma.

08 Yokaana 14:7

Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”

09 Yokaana 1:18

Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.

Emitwe egikwatagana