Ennyiriri za Bayibuli ku Omubereberye ku Ebitonde Byonna
Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Omubereberye ku Ebitonde Byonna okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe.
Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa.
Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo.
era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe,
Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti, “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”
naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu.
Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.
Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna.
Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi ky’Omwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi.
Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera.