Ennyiriri za Bayibuli ku Emanueri

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Emanueri okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Matayo 1:23

“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”

02 Isaaya 7:14

Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.

03 Matayo 1:21

Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”

04 Yokaana 1:14

Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

05 Isaaya 9:6

Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye. N’erinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.

06 Matayo 28:20

Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.”

07 Yokaana 1:1

Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda.

08 Isaaya 8:10

Muteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka, mwogere ekigambo naye tekirituukirira.

09 Abakkolosaayi 2:9

Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri,

10 Abaebbulaniya 13:5

Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti, “Sirikuleka era sirikwabulira n’akatono.”

11 Abafiripi 4:5

Era mubeere n’okuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi.

12 Zabbuli 46:7

Mukama ow’Eggye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

13 Okubikkulirwa 21:3

Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.

Emitwe egikwatagana