Ennyiriri za Bayibuli ku Amaanyi g'Olulimi

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Amaanyi g'Olulimi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Engero 18:21

Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.

02 Yakobo 3:5-6

N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.

03 Engero 12:18

Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi, naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.

04 Engero 15:4

Olulimi oluzimba muti gwa bulamu, naye olulimi olulimba lubetenta omutima.

05 Matayo 12:36-37

Era mbategeeza nti buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olw’okusalirako emisango. Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”

06 Yakobo 3:8

naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.

07 Engero 21:23

Afuga akamwa ke n’olulimi lwe, yeewoonya emitawaana.

Emitwe egikwatagana