Ennyiriri za Bayibuli ku Mukama Aluŋŋamya Amakubo Gaffe

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Mukama Aluŋŋamya Amakubo Gaffe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

Yongerako ennyiriri zonna 11 Tondawo akawunti ey’obwereere okuzikwata ku mutwe.
01 Engero 20:24 Olunyiriri olukulu

Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama, omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?

02 Engero 16:9

Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye, naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.

03 Zabbuli 37:23

Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu, aluŋŋamya entambula ye.

04 Yeremiya 10:23

Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe, omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.

05 Engero 3:5-6

Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka. Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.

06 Zabbuli 32:8

Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.

07 Engero 16:3

Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama, naye anaatuukirizanga entegeka zo.

08 Isaaya 30:21

Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.”

09 Zabbuli 48:14

Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna; y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

10 Zabbuli 25:9

Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu n’abayigiriza ekkubo lye.

11 Isaaya 58:11

Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga, amagumba go aligongeramu amaanyi; era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi, era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.

Emitwe egikwatagana