Ennyiriri za Bayibuli ku Ebiseera bya Katonda

Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Ebiseera bya Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Omubuulizi 3:1

Buli kintu kirina ekiseera kyakyo, na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.

02 Omubuulizi 3:11

Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma.

03 Abaggalatiya 4:4

Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we

04 Kaabakuuku 2:3

Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere. Kwogera ku by’enkomerero ate si kwa bulimba. Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire, kujja kutuukirira, tekugya kulwa.

05 Isaaya 55:8-9

“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,” bw’ayogera Mukama. “Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi, bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.

06 Zabbuli 27:14

Lindirira Mukama. Ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Weewaawo, lindirira Mukama.

Emitwe egikwatagana