Ennyiriri za Bayibuli ku Tewali Kitayinzika

Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Tewali Kitayinzika okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Lukka 1:37

Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”

02 Matayo 19:26

Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”

03 Yeremiya 32:17

“Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu n’ensi n’amaanyi go amangi ennyo, n’omukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema.

04 Olubereberye 18:14

Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.”

05 Makko 10:27

Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abaddamu nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”

06 Yobu 42:2

“Mmanyi ng’oyinza okukola ebintu byonna, era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa.

07 Zekkaliya 8:6

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

08 Abaefeso 3:20

Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe,

09 Makko 14:36

N’asaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”

10 Okubala 11:23

Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”

11 Lukka 18:27

Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”

12 Matayo 17:20

Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa.

13 Zabbuli 115:3

Katonda waffe ali mu ggulu; akola buli ky’ayagala.

14 Isaaya 59:1

Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola, era si muzibe wa matu nti tawulira.

15 2 Ebyomumirembe 14:11

Awo Asa n’akoowoola Mukama Katonda we ng’agamba nti, “ Mukama, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa ab’amaanyi. Tuyambe Ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi Mukama, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.”

Emitwe egikwatagana